Agava mu ggwanga erya Gabon, amaggye gawambye laadiyo y’eggwanga era galangiridde nti omukulembeze w’eggwanga lyabwe Ali Bongo Ondimba, takyagwanira kulembera ggwanga lyabwe.

Ku laadiyo, amaggye, gategezeza nti betaaga akakiiko okutekawo okulonda, mu nkola ya demokulasiya mu ggwanga lyabwe.

Tekinamanyika, oba gawambye obuyinza bwa Ali Bongo kyokka bagenze okukikola nga tali mu ggwanga, yagenda kufuna bujanjabi.

Mu kiseera kino, amaggye gasasaanidde ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo n’emmotoka enwanyi era bangi ku bannansi bagadde amaduuka gabwe nga batidde ebiyinza okudirira.

Ali Bongo Ondimba mutabani w’omugenzi Omar Bongo eyali omukulembze w’eggwanga eryo nga nakyemalira okuva 1967 okutuusa 2009 lwe yafa, mutabani nakwata obuyinza nga 16, October, 2009 okutuusa olunnaku olwaleero.