Poliisi ekutte omusawo w’ekinnansi omulala ku by’okusaddaaka abantu mu bitundu bye Luweero.

Akwattiddwa y’e Muwonge Mwesigwa omusawo w’ekinnansi akolera mu bitundu bye Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah Paul Kangave, Mwesigwa okwattibwa, kidiridde omusawo w’ekinnansi eyakwatibwa ku wikendi Armstrong Nsubuga okuva ku kyalo Kyakatula-Butikwa mu ggoombolola y’e Kikyusa, okutegeeza nti omulambo ogwasangiddwa mu ssabo lye, gwaleteddwa musawo munne Mwesigwa okuva e Nansana.

Kangave era agambye nti okumpi ne ssabo wasangiddwawo amagumba agateberezebwa okuba ag’abantu abattibwa era mu kiseera kino, okunoonyereza kwatandiise dda.

Nsubuga agamba nti Mwesigwa yaleeta omusajja gwatamanyi gwe basaddaaka nga 30, Janwali, 2019 era y’emu ku nsonga lwaki bakwattiddwa Poliisi okubitebya.