Omubaka wa Mityana munisipaali Francis Zaake olunnaku olwaleero asuubirwa okuleetebwa mu kkooti ku misango egimuvunaanibwa.

Zaake myaka 28 yakwattiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna 21, Febwali, 2019 era okusinzira dayirekita w’ekitongole ekinoonyereza ku misango mu ggwanga Grace Akullo, “Zaake abadde anoonyezebwa kuba yalemwa okuddayo ku Poliisi okweyanjula (Bond) ku misango egimuvunaanibwa omuli okulya mu nsi olukwe n’okutoloka mu kkomera”.

Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Vincent Ssekate agamba nti Zaake bamutwala mu kkooti y’e Arua oba Gulu okwewozaako ku misango egimuvunaanibwa.

Zaake n’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi amanyikiddwa nga Bobi Wine n’abalala 33 bali ku misango gy’okukuba emmotooka y’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni amayinja nga 13, August, 2018 endabiramu neyiika mu bitundu bya Arua mu kiseera ky’okuddamu okunoonya akalulu ka munisipaali ya Arua, oluvanyuma lwa Ibrahim Abiriga okuttibwa.

Kassiano Ezati Wadri myaka 61 wadde talina kibiina mu kiseera kino, yawangula okulonda okwo era y’omu kwabo abavunaanibwa.

Wabula munnamateeka wa Zaake, omubaka Medard Ssegona agambye nti bayungudde bannamateeka abenjawulo okulwanirira omuntu waabwe okumuggya mu kkomera.

Ate Bobi Wine agambye nti bagenda kukola kyonna ekisobola okulwanirira okuggya Zaake mu kkomera kuba alina okuwereza abalonzi be.