Kyaddaki Zari Hassan avuddemu omwasi ku bigambibwa nti omuyimbi okuva mu ggwanga erya Nigeria Peter Okoye yamwagalako mu kiseera ng’ali mu bufumbo ne Diamond Platnumz.

Sabiti ewedde Platnumz bwe yabadde ku laadiyo mu ggwanga erya Tanzania, yagambye nti Zari muntu mukyamu nnyo kuba yebaka n’abasajja ab’enjawulo omuli ne Peter Okoye mu kiseera nga bali bombi era y’emu ku nsonga lwaki naye yasalawo okumwesonyiwa.

Wabula Zari agamba nti yewunyiza nnyo omusajja omukulu okudda ku Laadiyo mu ggwanga lye, okutandiika okumuwayiriza ebintu ebitaliiyo.

Zari agamba nti Platnumz yali musajja mwenzi nnyo omuli n’okuleeta abakyala mu buliri bwe.

Mungeri y’emu agamba nti “bwe kiba kituufu nga nayagalako omusajja yenna mu kiseera ngandi mu bufumbo ne Platnumz, abaana bombi babiri (2) benazaala mu kiseera ekyo, Omutonzi abatwale”.