Omusajja eyakwatibwa ku by’okuwaamba n’okubba munnansi wa America eyali agenze okulambula mu Queen Elizabeth National Park enkya ya leero, akomezebwawo mu kkooti okuva ku Limanda mu kkomera e Kalungu gye yasindikibwa omwezi oguwedde ogw’okuna nga 18, 2019.

Onesmas Byaruhanga myaka 43 ng’avuga bodaboda ku kyalo Kishamba mu town Council y’e Kanungu, yasindikiddwa ku Limanda ku misango g’okuwaamba Kimberley Sue ne gayidi we Jean-Paul Mirenge.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 2, April, 2019, Byaruhanga ne banne abakyalira ku nsiko, bateega Omulambuzi Kimberley ne gayidi Mirenge, nga bali mu kulambula okubawamba n’ekigendererwa eky’okusaba ensimbi.

Mu kkooti, omulambuzi Andrew Katurubuki yategezeddwa nti Kimberley bamutwalako essimu ebalibwamu akakadde kamu, Kamera emu eri mu bukadde 2 n’ebintu ebirala ssaako ne gayidi Mirenge essimu ye ebalibwamu obukadde bubiri (2).

Olunnaku olwaleero, oludda oluwaabi lugenda kutegeeza kkooti webatuuse mu kunoonyereza.