Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni awadde bannayuganda amagezi engeri gye basobola okulwanyisa obwavu.

Museveni bwe yabadde ku lunnaku lw’abakozi ku mikolo egy’abadde mu disitulikiti y’e Agago, olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu olukwatibwa buli nga ennaku z’omwezi lumu ogw’okutaano buli mwaka, yagambye nti bantu balina okujjumbira okwekebeza endwadde ezenjawulo.

Museveni agamba nti omuntu omulamu, asobola bulungi nnyo okukola okulwanyisa obwavu kuba teri mulwadde ayinza kukola mulimu gwonna.

Ate ku nsonga y’okunyweza ebyokwerinda mu ggwanga, Pulezidenti Museveni agumizza bannansi era agambye nti tewali muntu yenna ayinza kutabangula ggwanga mu kiseera kino ng’ali mu buyinza.

Ezimu ku ndwadde zanokoddeyo mwe muli Kansa, Hepatitis B n’endala era agamba nti singa abantu bajjumbira okwekebeza, basobola bulungi nnyo okwekolamu omulimu okulwanyisa obwavu.

Abakozi basinzidde ku mikolo emikulu egy’eggwanga ne bawanjagira gavumenti ekole ku misaala gyabwe n’okukola ku kizibu by’abakozi abanyigirizibwa naddala emitala w’amayanja.