Poliisi y’e Kanungu eri mu kunoonya omwana ategerekeseeko erya Ivan eyakutte ejjambiya natemako kitaawe Katungi Benson myaka 54 ekibatu ku kyalo kishayo cell mu ggombolola y’e Kanyantorogo olunnaku olw’eggulo.
Kigambibwa kitaawe Benson yabadde alwana ne nnyina era Ivan yakutte ejjambiya okutaasa nnyina kyokka ekyembi, natemako ekibatu kya kitaawe.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, omwana Ivan asoma mu P7 mu kiseera aliira ku nsiko oluvanyuma lw’okutemako kitaawe ekibatu wabula Poliisi etandiise okunoonyereza.

Maate agamba nti abafumbo baludde nga balina obutakaanya olw’omukyala okulumiriza bba obwenzi era kiteberezebwa y’emu ku nsonga lwaki okulwanagana kwabaluseewo.

Ssemaka Benson aweereddwa ekitanda mu ddwaaliro erya Bwindi community hospital ate omwana Ivan aguddwako omusango ku Poliisi y’e Kanungu ku fayiro CRB 281/2019.