Paasita Aloysius Bugingo alaze nti amaliridde okuwasa omukyala omulala era mu kiseera kino amuzimbidde ennyumba etemya ng’omuntu ku kyalo Nakedde mu ggombolola y’e Namayumba mu disitulikiti y’e Wakiso.

Kigambibwa mu kiseera kino Paasita Bugingo apepeya n’omukyala Susan Makula Nantaba oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya n’omukyala w’empeta Teddy Bugingo era mbu alemeddeko okusatulula obufumbo bwe n’omukyala Teddy gw’alinamu baana bana (4).

Susan Makula Nantaba
Susan Makula Nantaba

Ennyumba eriko kalina bbiri (2) era etudde ku bugazi bwa yiika 10 mwegenda okubeera n’omugole Nantaba.

Mu kiseera kino Paasita Bugingo n’omukyala Teddy tebalima kambugu era obubonero obuliwo bulaga nti tewali ssuubi lyonna lwakuddamu kwebaka ku kitanda kimu ng’abafumbo b’empeta.

Paasita Bugingo n'omukyala Teddy
Paasita Bugingo n’omukyala Teddy

Ekifaananyi kya Bukedde