Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni agumizza Abazungu ku kya bannayuganda okulonda abakulembeze baabwe mu kulonda okubindabinda okwa 2021.
Pulezidenti Museveni bwe yabadde asisinkanyeko abakungu b’omukago gwa Bulaaya mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebe, yagambye nti okulonda kwa 2021 kujja kubaayo kuba buli kimu kitambula bulungi mu kiseera kino era entekateeka zikolebwa akakiiko k’ebyokulonda.
Ku nsonga y’abannayuganda okwekalakaasa mu mirembe, Museveni agamba nti kulina kukolebwa mu bitundu bitaliimu bantu bangi ng’obutale kuba tebalina kulemesa muntu yenna kukola mirimu gye wadde okutyoboola eddembe ly’abantu abalala.
Museveni agamba nti omuntu yenna ayagala okwekalakaasa, alina okutegeeza ku kitongole kya Poliisi kiyambeko okubawa obukuumi n’okunyweza ebyokwerinda.
Ate eri abantu abakubaganya ebirowoozo ku mikutu egyenjawulo, Museveni agamba nti, “Nze njogera naye ssiyasa matu g’abantu. Tetwagala kulwana.Tetwagaa kwonoona bintu by’abantu wadde okubba”.
Mu ngeri y’emu yasiimye omukago gwa Bulaaya okusiga ensimbi mu ggwanga mu ngeri ezenjawulo.
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.