Omu ku muwagizi w’omuyimbi Khalifah Aganaga asabye Eddy Kenzo okuyamba, 2021 okuba manejja wa Khalifah mu kiseera kya Kampeyini.
Khalifah yalangirira nga bw’agenda okwesimbawo ng’omubaka wa Palamenti e Rubaga South okusindikiriza munnakatemba ow’erinnya Kato Lubwama.
Agamba nti kye kiseera abavubuka okukwata obuyinza era y’emu ku nsonga lwaki 2021 alina okwesimbawo okukola ku nsonga ezinyigiriza abantu n’okusingira ddala abavubuka.
Wabula Richard Caltic Z King asabye Kenzo akirize obwa Manejja okunonyeza Khalifah akalulu, asobole okuwangula.
Kiteberezebwa nti Caltic Z King y’omu ku balonzi mu bitundu bya Rubaga South.
