Mu bulamu, tewali muntu yenna ayinza kwerabira bazadde be mu mbeera yonna kuba omuzadde tagulwa wadde olina ssente.
Embeera eyo, atukiridde bulungi ku mukyala Zari Hassan eyali kabite w’omuyimbi Diamond Platnumz.

Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga omukwano gwe yali alina ne nnyina kati omugenzi Sultan Hassan eyafa mu 2017.
Alaze ensi nnyina bwe yali asitudde omwana Pinto Tlale era wakati mu kunyolwa, agambye nti amusubwa nnyo, “Major throw back… Mom and @pinto.tlale We miss you dearly“.
Mungeri y’emu asuubiza okukola kyonna ekisoboka okulaga omukwano abaana be kuba naye yagufuna okuva ku nnyina ate nabo bagutwale ku baana baabwe, “She did the best with me, am trying to do the best with them so they can pass it on as a generational blessing“.
Zari wadde alina ssente era ali mu mbeera nungi nnyo, bambi asubwa omukwano gwa nnyina.
https://www.instagram.com/p/BxPCaTIHi-j/