Paasita Aloysius Bugingo ow’ekkanisa ya House of Prayer Ministries International e Makerere ayongedde okwegobako mukyala we Teddy Naluswa n’abaana bonna.

Amawulire getufunye, galaga nti Paasita Bugingo akyusiza ebiwandiiko byonna ebiraga eby’obugagga bye n’omukyala Teddy ssaako n’abaana baabwe Doreen Gift Bugingo ne Treasure Bugingo.

Okusinzira ku mawulire ga Bukedde, Paasita Bugingo  yaduukidde mu kitongole kya Gavumenti ekivunaanyizibwa okuwandiisa Kampuni ne Buzinensi ekya Uganda Registration Service Bureau (URSB), okukyusa obwannanyini bwe kkanisa ya House of Prayer Ministries International ne kkampuni ya Salt Media Group Companies Ltd omuli Salt TV ne Salt Radio.

Paasita Bugingo mbu yakyusiza ne akawunta za Buzinensi era mu kiseera kino omukyala Teddy takirizibwa kuggya mu bbanka wadde 100 kuba tayinza kussa mukono ku Cceeke eggyayo ssente mu Bbanka yonna mwebateeka ssente.

Bukedde egamba nti okunoonyereza kulaga nti Bugingo yatutte obwannannyini bwa Salt TV ne Salt Radio, omukyala Teddy n’abaana bonna bagobeddwamu.

Mu lutuula wakati wa Bugingo ne URSB nga 11, Janwali, 2019, Teddy yagiddwa ku kifo ky’omuwandiisi bwa Kampuni zonna era kyasaliddwawo nti Paasita Mutaawe Francis Victor ye muwandiisi wa Kampuni omuggya.

Ebiwandiiko biraga nti omukyala Teddy n’abaana bonna, tebalina buyinza ku by’obugagga byonna.