Poliisi y’e Mityana ekutte omusawo w’ekinnansi LUYOMBYA GODFREY SPIRE myaka 70, omutuuze ku kyalo Zigoti mu disitulikiti y’e Mityana ku by’okusaddaka abantu.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala Norbert Ochom, mu kikwekweeto kya Poliisi, mu maka ga Luyombya, bazuddeyo ebintu ebyenjawulo omuli obuwanga bw’abantu bana (4), amagumba g’abantu n’ebintu ebirala.

Ochom agamba nti ebizibiti byonna bitwaliddwa mu ddwaaliro e Mityana okwekebejjebwa.
Poliisi era ekutte abantu abalala mwenda (9) bagiyambeko mu kunoonyereza omuli Mwebe Godfrey, Kabali Lawrence, Kalanzi Joram, Nalwoga Carol, Nakakawa Farida, Namenya Florence, Nakasida Hamida, Nasikombya Topista, Kabonge Lawrence n’omwana Kayiwa Josephati.





