Mu nsi yonna, buli Ssande ey’okubiri mu mwezi ogw’okutaano (May), olunnaku lwa bamaama mu nsi yonna era lwakuziddwa olunnaku olw’eggulo.

Ekyewunyisa, bangi ku baana n’abasajja baasindikidde bazadde baabwe ne bakyala baabwe obubaka okubagaliza olunaku olulungi kyokka bangi ku basereebu tebakikoze omuli n’omuyimbi Eddy Kenzo.

Tekimanyiddwa lwaki Kenzo yalemeddwa okwagaliza kabite we Rema olunnaku lwa bamaama kuba mukyala muzadde alina omwana.

Mu mbeera eyo, waliwo abasajja abalaze nti Rema ali mu birowoozo byabwe era bbo basobodde okumwagaliza olunnaku n’okulaga laavu yaabwe ku Rema.

Mu ngeri y’okulaga lwaki Rema yayimba Siri Muyembe, Kenzo alina okukimanya nti abasajja bangi nnyo abeegomba obulungi bwa Rema era okulaga nti balina obuswandi eri Rema, ku lunnaku lumu, bangi bamusindikidde obubaka, ekiraga nti Peneti emu ekutte mu katimba, balinze Kenzo asuule, balonde.