Omulamuzi wa kkooti esokerwako e Makindye Prossy Katushabe ezzeemu okusindiika ku Limanda mu kkomera e Luzira, omusirikale mu kitongole ky’obwananyini ekikuumi Ronald Obangakane eyakwattibwa ku by’okutta eyali omusawo wa IHK DR Catherine Agaba.
Mu kkooti oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Batson Baguma lusabye omulamuzi okubongera obudde, basobole okomekereza okunoonyereza kwabwe.

Omulamuzi akiriziganyiza n’okusaba kw’oludda oluwaabi era omusango gwongezeddwayo okutuusa nga 30, May, 2019.
Obangakene ali ku misango gy’obutemu n’obubbi era okusinzira ku ludda oluwaabi nga 12, April, 2019 e Bukasa mu bitundu bye Muyenga, Obangakene yatuga Dr Agaba n’amutta, omulambo gwe n’agusuula mu kinya kya kazambi.
Oluvanyuma Obangakene yabba ebintu bya Dr Agaba nga yakamala okumutta omwali essimu, Gas Cooker, ttivi ya Flat Screen n’ebintu ebirala.