Poliisi ekutte abantu 4 ku by’okuffa kw’abalongo ba Minisita omubeezi ow’amazzi Ronald Kibuule, abagudde mu kidiba ky’amazzi ekiwugirwamu akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo mu maka ga minisita Kibuule agasangibwa ku kyalo Kasenge mu ggombolola y’e Nama mu Disitulikiti y’e Mukono.

Okusinzira ku kiwandiiko ekiteekeddwako omukono gw’omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abakwattiddwa bakozi b’awaka, bayambeko Poliisi mu kunoonyereza.

Abalongo okuli Raiding Waswa ne Roman Kato babadde balina emyaka 2 n’emyezi 5 era okufa kwaabwe kwaleese ebibuuzo bingi ddala.

Abakwate kuliko Nalubwama Scovia omukozi w’awaka, Nankunda Peace, Lawrence Kibaya omulenzi abadde akola emirimu gy’awaka ssaako n’omukuumi Kumanya Agripa.