Ssaabawaabi wa Gavumenti Mike Chibita awabudde ekitongole ekya Poliisi, abasirikale abasatu (3) abali ku misango gy’okutta Ronald Ssebulime okusindikibwa mu kakiiko ka Poliisi akakwasiza empisa okusinga okubasindika mu kkooti za buligyo.

Ssebulime yattibwa ku bigambibwa nti yali awondera minisita omubeezi ow’ebyempuliziganya, Idah Nantaba nga 24, March, 2019 mu katawuni k’e Nagojje mu disitulikiti y’e Kayunga.

Ssebulime yakwatibwa n’assibwa ku kabangali ya poliisi oluvannyuma n’aggyibwako n’akubwa amasasi emirundi ebiri n’attibwa.

Corporal Edward Ssali
Corporal Edward Ssali

Ku basirikale 4 abakwatibwa, omusirikale omu yekka Corporal Edward Ssali okuva ku Poliisi y’e Naggalama, yeyasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddala erisooka e Mukono, Mariam Nalugya ku misango gy’obutemu.

Wabula enkya ya leero, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti baafunye okuwabulwa, abasirikale 3, okusindikibwa mu kakiiko kaabwe akakwasa empisa.

Enanga era agamba nti omusirikale omukulu Corporal Ssali yeyakuba amasasi era alina okwettikka omusaalaba ggwe.

Eddoobozi lya Enanga