Abakungubazi bakedde kweyiwa mu maka ga minisita omubeezi ow’ebyamazzi Ronald Kibuule okumusaasira olwa baana be abalongo okubuuka (okufa) akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande.
Abalongo Raiding Waswa ne Roman Kato babadde balina emyaka 2 n’emyezi 5 era baafiiridde mu kidiba ky’amazzi ekiwugirwamu mu maka ga minisita Kibuule agasaangibwa ku kyaalo Kasenge mu ggombolola y’e Nama mu Disitulikiti y’e Mukono era baakuzikibwa olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu ku kyaalo Kapeke, e Nama era mu Disitulikiti y’e Mukono.
Wabula ekyewunyisa olunnaku olwaleero, enju ya Minisita Kibuule, abakungubazi bagifudde kyabulambuzi era bangi balabiddwako nga bekubya ebifaananyi.



