Embaga y’omuyimbi Omutanzaniya Diamond Platnumz ne muganzi we Tanasha Donna eyongezeddwaayo omulundi ogw’okubiri.
Embaga yali esuubirwa omwaka oguwedde ogwa 2018 mu August, ekitasoboka nga tewali nsonga yonna.
Okusinzira ku mawulire okuva mu ggwanga erya Tanzania, Platnumz abadde ategese okukuba Tanasha embaga mu September wa 2019 kyokka entekateeka zonna ziyimiriziddwa.
Wabula Tanasha bwe yabadde ku Wasafi FM mu ggwanga erya Tanzania yagambye nti mu kiseera kino balina okwetegeera obulungi ne Platnumz, bonna okweyagala nga tewali kubusabuusa munne era embaga eggya kukolebwa ku buyinza bwa Katonda, “We decided to take our time focusing on knowing each other. Loving each other. Wedding plans will come God willing“.
Tanasha mu ngeri y’okulumya abakyala abalala omuli ne Zari Hassan era agambye nti Platnumz amwagala nnyo era ye mukyala yekka ali mu birowoozo bye, ekiraga nti essaawa yonna aggya kumukuba embaga.