Kyaddaki Poliisi ezudde omusajja eyazaala omwana mu muwala Noreen Nabweteme kyokka naalemwa okuwaayo obuyambi.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala Patrick Onyango, omwana wa Nyanzi Mukasa Joswa era n’omukyala abadde akimanyiko kuba abadde amuwa obuyambi obwenjawulo.

Olunnaku olw’eggulo, Mukasa yakiriza nti ye taata w’omwana kyokka akyebuuza ekyawaliriza Nabweteme okugenda mu bannamawulire kuba abadde amuwa obuyambi.
Mukasa era asambaze ebigambo ebyogerwa nti abadde akozesa erinnya ly’omuyimbi Geosteady era mbu lyakozesa okusaba abakyala omukwano. Agamba nti Geosteady mukwano ggwe era amwagala nnyo mu kisaawe ky’okuyimba ng’atayinza kukozesa linnya lye.