Omuwala Noreen Nabweteme abadde alumiriza omuyimbi Geosteady okumuzaalamu omwana wabula nalemwa okuwaayo obuyambi aguddwako omusango omukwambwe.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Nabweteme ali ku musango gw’okuwa Poliisi amawulire amakyamu era okunoonyereza kugenda mu maaso.

Onyango agamba nti Nabweteme yakwattiddwa ku Lwokusatu ku Poliisi y’e Katwe kuba kimenya mateeka okuwa ekitongole ekya Poliisi amawulire ag’obulimba.

Mu kiseera kino, kyategerekese nti omuvubuka Nyanzi Mukasa Joswa ye taata w’omwana kyokka Nabweteme agamba nti waliwo abantu ababadde bamukozesa okulumiriza omuyimbi Geosteady.