Omusuubuzi Luzzi Abraham amanyikiddwa nga Mr. Economy ku mitimbagano gya yintanenti alangiridde nti avuddeyo okununula abatuuze mu Monisipaali y’e Mityana, okubaletera enkulakulana.

Luzzi agamba nti Francis Zaake myaka 28 alemeddwa okuyamba abalonzi n’okubasakira era 2021, alina okumuggya mu Palamenti.

Luzzi amanyikiddwa nnyo mu bitundu bye Mityana mu kuyamba abantu era akoze nnyo okuyamba kirabu ya Proline FC n’obuyambi obwenjawulo.

Mu kiseera kino, asobodde okutandikawo akademi z’omupiira mu Hammersmith, London mu ggwanga erya Bungereza okuyamba abaana n’abavubuka okutumbula talenti zaabwe ssaako n’okulwanyisa ebbula ly’emirimu wansi w’ekibiina ekya Ssebo International Group.

Luzzi musajja wa NRM era agamba nti bategese bulungi ddala, 2021 okukwata obuyinza, okuggya abalonzi b’e Mityana mu buwambe bwa Zaake.

Okusoma kwe, agamba nti wakati wa 1999 – 2005, yali muyizi ku Kawempe Muslim Secondary School, oluvanyuma yafuna diguli mu kugula n’okutunda (Logistics) ku yunivaasite y’e Nkumba ate musajja alina eddini.