Minisita omubeezi ow’ebya tekinologiya Aidah Nantaba ategezezza nga bwasimatusse okuttibwa enfunda eziwerako nga era obulamu bwe buli mu katyabaga.

Nantaba bino abyogeredde ku mukolo kweyeebalizza Katonda okumusobozesa okusimattuka abaagala okumuggya mu bulamu bw’ensi eno.

Bw’abadde eyogerako eri abantu, agambye nti tewali kubusabuusa kwonna Ronald Ssebulime yali atumiddwa kumutta era mu kwogera kwe, alaga nti alina bwiino yenna.

Ssebulime ng’ali n’omusajja ataategeerekeka bagambibwa nti baagoberera minisita Nantaba n’ekigendererwa ky’okumutuusaako obulabe bwe yali ava e Kayunga gy’akiikirira mu palamenti ng’omubaka omukazi ng’ada e Kampala.

Mmotoka ya Nantaba eyalimu omukuumi we kigambibwa nti yasaba poliisi obuyambi eyamugoberera n’efunza Ssebulime ne munne nga bali e Nagojje era wano we yattirwa.

Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga yagamba Ssebulime yakwatibwa n’assibwa ku kabangali ya poliisi oluvannyuma n’aggyibwako n’akubwa amasasi emirundi ebiri n’attibwa.

Abasirikale bana (4) bakwatibwa dda era mu kiseera kino David Ssali yasindikiddwa ku Limanda e Luzira ku misango gy’obutemu.