MINISITA omubeezi avunaanyizibwa ku by’obuwangwa mu minisitule y’ekikula ky’abantu n’abakozi, Peace Mutuuzo alabudde abayimbi okwesonyiwa okuyimba ennyimba z’ebyobufuzi mu kiseera kino kuba kimenya amateeka.

Minisita Mutuuzo agamba nti ennyimba bwezityo zirina obudde bwaazo era abayimbi abaagala okuziyimba, balina kulinda ekiseera kya kampeyini nga 2021.

Minisita Mutuuzo
Minisita Mutuuzo

Minisita Mutuuzo bw’abadde ku Uganda Media Centre mu Kampala enkya ya leero agambye nti abayimbi balina okuyimba ennyimba ezikulakulanya abantu.

Mungeri y’emu agambye nti ekya Gavumenti okuwera ennyimba z’ebyobufuzi kivudde wala era Gavumenti ya NRM siyesoose.

Ebigambo bya Minisita, abamu ku bayimbi abakoseddwa abasinga okuyimba ennyimba z’ebyobufuzi mwe muli Bobi Wine, Ronald Mayinja n’abalala.

Eddoboozi lya Minisita Mutuuzo