Tamale Mirundi atabukidde omuyimbi Geosteady okukomya okuwudiisa bannayuganda ku nsonga ze n’omuwala Norine Nalubega (Nabweteme) eyali amulumiriza okumuzaalamu omwana n’atamulabirira.

Sabiti ewedde Geosteady n’omwana bagiddwako Ndaga Butonde (DNA) era alipoota y’abasawo yalaze nti omwana Geosteady siyamuzaala.

Geosteady ne Nabweteme
Geosteady ne Nabweteme

Mu mbeera eyo, Tamale Mirundi agambye nti Geosteady okukiriza okugenda ku DNA, kabonero akalaga nti yali abaddeko mu laavu ne Norine kyokka abadde abusabuusa omwana.

Bw’abadde ku NBS TV enkya ya leero, Mirundi agambye nti tewali musajja yenna ayinza kukiriza DNA ng’omuwala oba omukyala tamulabangako.

Mungeri y’emu agambye nti Geosteady alina okukiriza nti omuwala yali abaddeko naye mu kikolwa ky’omukwano nga talina kondomu kyokka abadde alina okubusabuusa ku mwana eyazaalibwa era y’emu ku nsonga lwaki yataddemu ssente okugenda ku DNA.