Minisita omubeezi ow’ebya tekinologiya Aidah Nantaba atabukidde ekitongole ekya Poliisi ku nsonga z’ekitta abantu mu ggwanga.
Minisita Nantaba agamba nti abantu bangi battiddwa omuli Ibrahim Abiriga, Muhammad Kirumira n’abalala kyokka tewali mutemu yekka yakwattiddwa.
Mungeri y’emu atabukidde baminisita abakola ku nsonga z’ebyokwerinda okusirika obusirisi ng’abantu battibwa ne Poliisi obutafaayo, ekiraga nti omutemu bamumanyi.
Minisita Nantaba era agamba nti abantu bangi bakwattiddwa ku misango gy’obutemu nga tebalina musango, ekiraga nti abatemu abatta abantu tebaagala kubakwata.

kubyogera, kidiridde Poliisi okulemwa okunoonyereza ani yali asindise Ronald Ssebulime okumutta n’omukulu eyawa omusirikale David Ssali ebiragiro, Ssebulime okubwa amasasi.
Ssebulime ng’ali n’omusajja ataategeerekeka bagambibwa nti baagoberera minisita Nantaba n’ekigendererwa ky’okumutuusaako obulabe bwe yali ava e Kayunga gy’akiikirira mu palamenti ng’omubaka omukazi ng’ada e Kampala.
Mmotoka ya Nantaba eyalimu omukuumi we kigambibwa nti yasaba poliisi obuyambi eyamugoberera n’efunza Ssebulime ne munne nga bali e Nagojje era wano we yattirwa.
Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga yagamba Ssebulime yakwatibwa n’assibwa ku kabangali ya poliisi oluvannyuma n’aggyibwako n’akubwa amasasi emirundi ebiri n’attibwa.
Abasirikale bana (4) bakwatibwa dda era mu kiseera kino David Ssali yasindikiddwa ku Limanda e Luzira ku misango gy’obutemu.
Eddoboozi lya Minisita Nantaba