Omuyimbi Jose Chameleone avuddeyo ku bigambibwa nti muyimbi munne Irene Ntale yalangiridde okumwesimbako ku bwa Loodi Meeya bwa Kampala mu kulonda kwa 2021.

Gye buvuddeko, amawulire gaafuluma nti Ntale naye amaliridde okwesimbawo ku bwa Loodi Meeya kuba naye alina ebisanyizo, obuwagizi n’okusingira ddala obw’abakyala ate alina obugaanzi mu bantu.

Ntale
Ntale

Wabula Chameleone bw’abadde awayamu naffe ku kya Ntale okumwesimbako ku bwa Loodi Meeya, agambye nti,”eggwanga lyaffe ffena era buli muntu waddembe okwesimbawo ku kifo kyonna kuba ffena tunoonya buwereza bulungi”.