Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunyulula emirambo gy’Abantu abaafiiridde mu kabenje k’eryato ku mwalo gw’e Fofo ku Nyanja Muttanzige emanyiddwa ennyo nga Lake Albert abaguddemu akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande nga bava okusamba omupiira gw’omukwano era kwabaddeko abasambi n’abawagizi.

Mu kiseera kino, Poliisi yakanyulula emirambo 16, kyokka nga balubbira bagamba girabika giweddeyo kubanga banoonyezza okwetoloola ekitundu kyonna naye nga tebasuubirayo mirala.

Okusinziira ku Poliisi bakyalemeddwa okukakasa omuwendo gw’abantu abaabadde ku lyato lino kubanga tewali kiwandiiko kiraga bantu baabadde ku lyato.

Kigambibwa nti abantu abali wakati we 50 – 60, bebadde ku lyato nga 32, baasobodde okutaasibwa nga n’emirambo 16, ginyuluddwa.

Mu bitundu ebimu batandise okuziika abantu baabwe wabula ng’omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Albertine, Julius Hakiza agamba nti Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza ekyavuddeko akabenje era mu kiseera kino Poliisi n’amaggye banyikizza omuyigo.