OMUMYUKA wa Katikkiro wa Uganda owookubiri era minisita w’ensonga z’amawanga g’Obuvanjuba bwa Afrika, Ali Kirunda Kivejinja agambye nti sikyangu omuntu yenna okukwata obuyinza okulembera eggwanga.

Mu kwogerako eri bannamawulire mu Kampala, Kivejinja agambye nti okukwata obuyinza si muzannyo era tekisoboka omuntu yenna okuva mu Ghetto okulya obukulembeze bw’eggwanga, “you can’t just come from the ghetto to be the President”.

Kivejinja tayatuukiriza linnya lya muntu yenna kyokka ye agamba nti entebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino okugifuna, omuntu yenna alina okuyita mu kusomozebwa okw’enjawulo era y’emu ku nsonga lwaki Yoweri Kaguta Museveni akyali mu buyinza.

Ebigambo bya Kivejinja, kabonero akalaga nti abaddeko obubaka  bw’asindikira bannayuganda, abalina esuubi nti omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine asobola okuva mu Ghetto ze Kamwokya okuwangula obukulembeze bw’eggwanga lino.

Eddoboozi lya Minisita Kivejinja