Amawulire agava mu ggwanga erya Tanzania galaga nti Hamisa Mobetto eyali muganzi wa Diamond Platnumz adduse mu nju gy’abadde apangisa.

Enju esangibwa ku Bahari Beach mu kibuga Dar es Salaam, erimu ebisenge 4 era buli mwezi Hamisa abadde asasula akakadde kamu aka Tanzania eza Uganda 1,630,000shs ng’omupangisa yenna alina okusasula emyezi 6 bwe bukadde 10 omulundi gumu.

Diamond Platnumz, Hamisa Mobetto n'omwana waabwe
Diamond Platnumz, Hamisa Mobetto n’omwana waabwe

Kigambibwa, Diamond yali asasulidde Hamisa emyezi 6 kyokka ebbanga bwe liweddeyo, enju agivuddemu olwa ssente kuba zisukkiridde obungi.

Hamisa alina omwana wa Diamond gwe yamuzaalamu wadde bayawukana era mu kiseera kino buli omu akola mirimu gye wadde Diamond awaayo ssente z’okulabirira omwana we.

Abamu ku mikwano gya Hamisa bagamba nti yavudde mu nju kuba naye asemberedde okukomekereza okuzimba amakaage.

Ekifaananyi kya Uganda Online