MINISITA omubeezi ow’ensonga z’abavubuka n’abaana mu gavumenti eya wakati Florence Nakiwala Kiyingi alangiridde olutalo ku muyimbi Senyonjo Patrick amanyikiddwa nga Fresh Kid myaka 7.

Minisita Nakiwala agamba nti Fresh Kid wadde alina talenti, alina okukula ng’abaana abalala kuba kimenya amateeka omwana omuto okumukozesa okufuna ssente.

Agamba nti wadde Fresh Kid yafunye sikaala mu Ruparelia Foundation’s Naiya Ruparelia okusomera ku Kampala Parents School mu Kampala, tebinagwa.

Minisita Nakiwala bwe yabadde ayogerako eri abaana ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo yagambye nti asigaza olutalo okusomesa Fresh Kid eddini ku myaka gye kuba mwana Mukatuliki.

Nakiwala agamba nti Rev. Fr. Joseph Luzindana yakirizza okusomesa Fresh Kid eddini era abazadde balina okumutwalayo.