Pulezidenti w’eggwanga erya Tanzania John Joseph Magufuli agobye Minisita w’ebyobusuubuzi Joseph Kakunda ne Kamisona w’ekitongole ekisoloza omusolo ekya Tanzania Revenue Authority (TRA), Charles Kichere.

John Joseph Magufuli
John Joseph Magufuli

Okusinzira ku nkyukakyuka mu kabinenti ezalangiriddwa amaka g’omukulembeze w’eggwanga, Pulezidenti Magufuli alonze Innocent Bashungwa okudda mu bigere bya Kakunda ate Edwin Mhede alondeddwa okusikira Kichere.

Bashungwa abadde amyuka Minisita w’ebyobulimi ate Mhede abadde muwandiisi ow’enkalakalira mu minisitule evunanyizibwa ku eby’obusuubuzi.

Kakunda ye Minisita ow’okusatu okugobwa mu bbanga lya myaka esatu.