Omuyimbi R. Kelly yegaanye emisango gy’okusobya ku baana abato n’okutyoboola eddembe lyabwe.
Kelly bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi mu bitundu bye Cook, ssaaza lye Chicago, agambye nti emisango gyonna tagimanyi era gigendereddwamu kwonoona linnya lye.
Kelly singa emisango gimusinga, ekibonerezo asibwa emyaka 30 era omusango gwakuddamu okuwulirwa nga 26, June, 2019.
Kigambibwa R. Kelly yakabasanya abawala bana (4) mu ggwanga erya America era y’ensonga lwaki ali mu kkooti.
Yazaalibwa 8, January, 1967, e Chicago, Illinois mu ggwanga erya America, alina emyaka 52, musajja muzadde alina abakyala n’abaana.
Ezimu ku nnyimba ezimufudde omuntu ow’enjawulo mwe muli I Believe I Can Fly, When a Woman’s Fed Up, Happy People, If I Could Turn Back the Hands of Time n’endala.