Poliisi eyimirizza akakiiko kaabwe ek’empisa okuwuliriza emisango egivunaanibwa abasirikale abali ku misango gy’okutta Ronald Ssebulime.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Afande Fred Enanga, okuwuliriza emisango egivunaanibwa omusirikale Police Constables Ronald Opira, Ronald Baganza ne Robert Cherotich kwayimiriziddwa era enteseganya zikyagenda mu maaso wakati w’ekitongole ekya Poliisi ne Ssaabawaabi wa Gavumenti.

Omwezi oguwedde, Ssaabawaabi wa Gavumenti yalabula ekitongole ekya Poliisi nti abasirikale abo, batwalibwe mu kakiiko ka Poliisi ak’empisa kuba omusirikale omukulu Edward Ssali yakirizza okuba amasasi agatta Ssebulime.

Ssebulime yattibwa nga 24, March, 2019 mu katawuni k’e Naggojje mu ggombolola y’e Naggojje mu disitulikiti y’e Mukono ku bigambibwa nti yali awondera emmotoka ya Minisita omubeezi ow’ebyatekinologiya Aidah Erios Nantaba n’ekigendererwa eky’okumutusaako obulabe.

Kigambibwa Ssebulime yali ateekeddwako empingu ng’atikiddwa kabangali ya Poliisi, abasirikale kwe kumujjako ne bamukuba amasasi gamuttirawo.

Ku basirikale abana (4) abaali kabangali ya Poliisi, omusirikale omu yekka Ssali yagulwako emisango gy’obutemu mu maaso g’omulamuzi Mariam Nalujja Ssemwanga w’eddaala erisooka mu kkooti e Mukono.