John Blaq alaze nti mu kiseera kino y’omu ku bayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba.
Bwe yabadde mu kivvulu mu kibuga London mu ggwanga erya Bungereza, John Blaq bwe yalinye ku siteegi yakyamudde abadigize n’okusingira ddala byanabiwala era bangi obwedda bakutte amassimu gaabwe okukwata vidiyo.

John Blaq ku siteegi yasobodde okuyimba ennyimba zonna omuli Tukwatagane, Obubadi, Makanika, Romantic, Your Body, Do Dat n’endala era abadigize bonna baavuddeyo balina essanyi