Ekiyongobero kyabuutikidde abatuuze ku kyalo Kasubi zone III mu ggombolola y’e Lubaga, omukyala bwe yekumyeko omuliro mu nnyumba ne muwala we myaka 3 bonna ne bafiiramu.

Cathy Nabbosa Shamira abadde alina obutakaanya ne bba Alex Lukyamuzi era kigambibwa y’emu ku nsonga lwaki yasazeewo okwetta ne muwala we.

Abatuuze bagezezaako okuzikiza omuliro okutaasa Nabbosa n’omwana, ekintu ekitasobose era Poliisi okuva e Kawala weyatuukidde nga tewali kyeyinza kutaasa.

Peter Tamale, ssentebbe w’ekyalo agamba nti Nabbosa wadde abadde mukyala musiraamu kyokka abadde yatandika okunywa omwenge nga kivudde ku butakaanya wakati we ne bba Lukyamuzi.

Mungeri y’emu avumiridde eky’omukyala Nabbosa okutta omwana omuto atalina musango gwonna.