Poliisi y’e Mukono ekutte omukyala ku by’okuliisa emmere omwana wa muggya we ng’ataddemu omusaayi gwe ogw’ebitundu by’ekyama mu kiseera ng’ali mu nsonga.
Annet Namata omutuuze ku kyalo Mukono Central Division mu ggombolola y’e Mukono yakwattiddwa.
Bba w’omukyala Unusu Lungu agamba nti abatuuze bebasobodde okuyingira mu nsonga olw’omwana, okutandiika okusesema olw’okulya emmere omuteekeddwa omusaayi.
Omukyala Namata olwamaze okuwa omwana emmere n’enva z’emboga, yatambudde okugenda mu nsiko okukwata ensenene.
Omwami Lungu agamba nti omukyala abadde akulungudde ebbanga ng’awa omwana we emmere y’omusaayi, ekintu ekiraga omukyala ow’empisa ensiwuufu.
Eddoboozi lya Lungu
Ku nsonga eyo, Sarah Namawejje Nnabakyala w’ekitundu agambye nti Namata akirizza okuwa omwana emmere omuli omusaayi gw’ebitundu by’ekyama kuba bba abadde asukkiridde okwagala omwana n’okumuwa ebirungi eby’enjawulo kyokka asabye okumusonyiwa.
Ku lwa Poliisi, adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Mukono, Rogers Sseguya, agambye nti ensonga bazikwasiza ofiisi evunaanyizibwa ku nsonga z’amaka n’abaana omuli okubudabuda omwana n’omukyala Namata akangavulwe.