Aba bodaboda mu bitundu bye Kawempe bekubye ebikonde mu lukungaana olwayitiddwa omuyimbi Bebe Cool okubalambika ku ngeri gye balina okulongosaamu omulimu gwabwe.
Aba bodaboda bagamba nti abakooye abantu nga Bebe Cool okuvaayo okwagala okuyamba omulimu gwabwe nga talina wadde bodaboda kuba bakoowa embeera eyo ku mulembe gwa Hajji Abdul Kittata ali mu kkomera e Luzira mu kiseera kino ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu mu ngeri emenya amateeka.
Kigambibwa okulwanagana kubadde wakati w’ekiwayi kya bodaboda okuva e Rubaga ne Kawempe era bangi bakwattiddwa Poliisi.
Bebe Cool mu kwogera kwe, alabudde abantu bonna abali mulimu gwa bodaboda okwesonyiwa ebyobufuzi kuba kigenda kubalemesa enkulakulana.
Bebe Cool ekyamututte e Kawempe kwe kunyikiza enkola y’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni mu bavubuka omuli okujjumbira okukola.