Minisitule y’ ebyobulamu ekakasizza nga ekirwadde kya Ebola bwe kizzeemu okulumba Uganda.
okusinziira ku Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng, ebiriwo omuntu omu yazuuliddwamu n’ekirwadde kino kisangiddwa mu mwana wa myaka ettaano ng’ono yabadde ne nnyina nga bayingiridde ku nsalo ye Bwera okuva mu ggwanga erya Democratic Republic of the Congo (DRC).

Minisita Dr. Aceng agamba nti omukyala munnansi wa Congo, yafuna omusajja munnayuganda era yali agenze mu Congo okujanjaba kitaawe eyafudde ekirwadde kya Ebola.
Omukyala okudda, kigambibwa omwana yakwata ku mulwadde, ekyaviriddeko naye okulwala.
Minisita agamba nti abakugu okuva mu ministule bakola kyonna okulaba nga ekirwadde kino tekisasaana ggwanga.
Engeri gye bukwata!
Abulina abusaasaanya nga buyita mu mazzi g’omubiri omuli omusaayi, entuuyo, amazzi ag’ekyama, amabeere, empitambi, omusulo, amalusu n’eminyira.
Kw’olabira Ebola!
Obubonero butera okweyoleka wakati w’ennaku ttaano ne 10 ng’omuntu akwatiddwa. Okuwulira olusujjasujja,omutwe okukulumirira ,okulumwa oba okumenyekamenyeka mu nnyingo n’ebinywa,okulumwa emimiro n’okukala n’omubiri okunafuwa.
Bwe bunyiinyitira!
Okusesema, okuddukana omusaayi,Okumyuka amaaso, Okulumwa mu kifuba n’okukolola.okukogga n’okuva omusaayi mu nnyindo, mu kamwa, amaaso n’amatu.
Okubwewala!
Weewale okukwata abantu mu ngalo.,Okunywegera abantu oba okubagwa mu kifuba., Weewale okwegatta n’omuntu gwe weekengera,Okukwata ku muntu afudde, Ebola oba okumuziika ng’afudde.,Yambala engoye ezibikka omubiri gwonna naddala ng’ogenda mu bifo eby’olukale ng’akatale, takisi, bbaasi n’ebirala.okunaaba obulungi ne ssabuuni ng’ozze awaka ate nga tonnakwata ku kintu kyonna., Dduka mangu mu ddwaaliro oba okuddusa oyo yenna abulina amangu ddala., Kuuma obuyonjo buli w’obeera.