Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akoze enkyukakyuka mu kitongole ekikuuma ddembe eky’amaggye.
Abadde Omudduumizi w’ ggye elyomubbanga Maj. Gen James Birungi alondeddwa okukulira eggye elikuuma Pulezidenti Museveni erya Special Forces Comand (SFC).

Maj. Gen Birungi asikidde Maj. Don Nabaasa asindikiddwa mu ggwanga lya China okwongera okubangulwa n’okusoma ebikwata ku maggye.

Maj. Nabaasa yakwata obuyinza okuva ku Lt Gen Muhoozi Kainerugaba mutabani wa Pulezidenti Museveni.