Mu Uganda, bangi ku bawala tebategeera kye bayita okukyalira ensiko era bangi emilyango jjona gisigala migule.

Okuva omwezi oguwedde, bangi ku basajja n’abakyala batabukidde omuwala Martha Kay okulemwa okukyalira ensiko oluvanyuma lw’ebifaananyi bye okufuluma ng’ali bukunya.

Abakyala bagamba nti singa Martha Kay yali yakyalira ensiko, yandibadde mukyala atuukiridde kuba alabika bulungi nnyo.

Mu mbeera eyo, Ssenga Kawomera avuddeyo okusomesa abaana abawala ebikozesebwa okukyalira ensiko n’obuwanvu obwetagisa ku mukyala yenna okusobola okuwa omusajja essanyu mu kisenge.

Okukyalira ensiko, kitegeeza waliyo ebitundu by’ekyama ebirina okuwanvuwako era nga ssinga okikola ekitundu ekisinga okubeera n’obusimu ku mubiri gw’omukyala kivaayo mu mbugo ne kiyamba omukyala okufuna obwagazi amangu.

Ssenga Kawomera agamba nti omukyala yenna bw’oba oyagala okukyalira ensiko eddagala erisinga okukola mulimu entengotengo ennene.

Mungeri y’emu agamba nti bw’oba okyali muwala muto nga ennyama ekyali ηηonvu osobola okusika abalongo ng’okozesa engalo zo, awatali kukozesa ddagala lyonna. Naye olina okubeera omunyiikivu oba okukyalira Ssenga yenna okuyambibwa.

Ssenga Kawomera era agamba nti omukyala yenna singa okyalira ensiko, olina okakasa nti abalongo benkanankana olugalo lwawakati.

Singa okyalira ensiko, newegatta n’omusajja yenna, olina okuddamu okusika kuba ziyinza okugwerera buli lukya.

Ssenga Kawomera agamba nti wadde Martha Kay muwala akuliridde, asobola bulungi nnyo okukyalira ensiko bw’aba ayagala kuba tewali kibaawo ssinga tokyalira nsiko kubanga osobola okuzaala, osobola okwegatta era n’ofuna obwagazi kubanga mu butonde omukyala yenna asobola okufuna obwagazi.

Jjukira amawanga mangi tegakyalira nsiko. Naye oba oli wa ggwanga erikitwala nti kikulu, okugeza nga mu Baganda oba olina okukyalira ensiko.