Entiisa ebuutikidde ekyalo ky’e Bulega ekisangibwa mu ggombolola y’e Najja mu Disitulikiti y’e Buikwe abantu 4 bwe basangiddwa nga battidwa mu bukambwe mu kiro ekyakeseza olunnaku olw’eggulo ku Mmande.

Abattiddwa kuliko maama Agnes Nakabugo n’abaana basatu (3) era emirambo gyabwe gisangiddwa mu kitaba ky’omusaayi.

Abaana abattiddwa kuliko ow’emyaka 17, 16 ne 11 era kigambibwa omutemu abadde amanyikiddwa ku kitundu.

Okusinzira Namukasa Prossy akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku Poliisi y’e Lugazi, emirambo gitwaliddwa mu ddwaaliro e Kawolo okwekebejjebwa.

Namukasa era asabye abatuuze abalina amawulire ku ttemu ly’okutta abatuuze baabwe, okuyamba Poliisi mu kunoonyereza nga bagiwa amawulire.