Poliisi y’e Ntungamo ekutte omusomesa ku by’okusiyaga omwana myaka 15.
Yiga Sudaisi amanyikiddwa nga Kagame myaka 23 nga mutuuze ku kyalo Kyaruhunga mu ggombolola y’e Bwongyera mu disitulikiti y’e Ntungamo yakwattiddwa.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga bw’abadde ayogerako eri bannamawulire e Naguru, agambye nti Sudaisi abadde asiyaga omwana okuva mu February wa 2018 era abadde amutisatisa nga bw’agenda okumutta singa abaako omuntu yenna gwagamba.
Enanga era agambye nti maama yatutte omwana mu ddwaaliro okwekebejjebwa oluvanyuma yaddukidde ku Poliisi, omusomesa Sudaisi bakwatibwa.