Omukyala zari Hassan myaka 38 alaze lwaki ategeera kye bayita omukwano ate n’okunoonya ssente okwekuumira ku mulembe.
Zari alina abaana bataano (5) era mu kiseera kino alina mu laavu n’omusajja amanyikiddwa nga MR M oluvanyuma lw’okwawukana ne bba omuyimbi Omutanzaniya Diamond Platnumz.
Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram era agambye nti ategeera bulungi nnyo okwawula wakati w’okunoonya ssente n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa nga maama.
Mungeri y’emu agambye nti wadde alina okunoonya ssente, alina okukola ebiwa obulamu bwe essanyu, okulaga abaana omukwano n’okuba eky’okulabirako eri abantu abalala.
Ebigambo bya Zari n’endabika y’emu ku nsonga lwaki abasajja bangi bayayaana okumukuba amatooke kuba mukyala alabika bulungi nnyo.
Mu kiseera kino Platnumz kirabika ali mu kwejjusa kuba yasubwa omukyala ategeera kye bayita omukwano, okunoonya ssente n’ensonga z’amaka.
https://www.instagram.com/p/By2Jw2ZHQwD/