Poliisi mu Kampala ekutte abasajja babiri (2) ku misango gy’okubba bodaboda n’okutta bannanyinizo.

Abakwattiddwa kuliko Kenneth Bogere ne Gideon Matovu era kiteeberezebwa, nti bakabba bodaboda, eziri 40.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Afande Patrick Onyango, Poliisi yakutte Bogere ne bodaboda namba UEL 075Z eyabibwa mu disitulikiti y’e Ibanda era Poliisi bw’ebadde emukunya, yanokoddeyo Matovu eyakwattiddwa okuva e Najeera mu disitulikiti y’e Wakiso.

Onyango agamba nti Matovu mu kwattibwa, yakirizza okwenyigira mu kubba bodaboda era mu kiseera kino alina pikipiki ezisukka 40.

Ezimu ku bodaboda mwe muli UEQ 400-K, UEK 475-M, UEP 050-N, UEK 878-A n’endala.

Onyango era agambye nti okunoonyereza kyagenda mu maaso ku nsonga eyo, okukwata abantu bonna abali mu kabondo k’okubba bodaboda.