Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Gladys Kamasanyu akawangamudde bw’ategeezeza nti eyali omusomesa ku yunivaasite y’e Makerere Dr.Stella Nyanzi alina omusango gw’alina okwewozaako.

Dr Nnyanzi ali ku musango gw’okukozesa omukutu gwa Facebook nawandiika ebigambo ebivuma n’okuwemula omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ne nnnyina omugenzi Esiteri Kokundeka bwe yali amuweereza obubaka ng’amuyozayooza okutuuka ku mazalibwa ge.

Mu kkooti, omulamuzi Kamasanyu agambye nti okusinziira ku bujjulizi bw’abantu basatu (3) abaaletebwa oludda oluwaabi, Dr Nyanzi alina okwewozaako kuba balina obukakafu nti yateeka ebigambo by’obuwemu ku mutimbagano gwa Facebook.

Mungeri y’emu agambye nti abajjulizi bonna omuli looya Dalton Opwonya n’abaserikale Billy Ndyamuhaki ne Harriet Kenyana kiraga nti Nyanzi alina omusango.

Nyanzi abadde mu kkomera e Luzira okuva mu October wa 2018 era omulamuzi azzeemu okumusindika ku limanda okutuusa nga 1, July, 2019, okutandiika okwewozaako.

Bannamateeka ba Nyanzi okuli Isaac Ssemakadde ne Derrick Bazzeketta bategeezeza omulamuzi nti omuntu waabwe wakuleeta mu kkooti abantu 5 ku 7 mu kwewozaako.