Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayagalizza bannayuganda obuwanguzi mu kikopo kya Africa ekya Total Africa Cup of Nations (Afcon) 2019.

Empaka zitandiika olunnaku olwaleero, abategesi aba Egypt bageenda kutunka ne Zimbabwe ate olunnaku olw’enkya ku Lwomukaaga, Uganda eyingire mu nsike ne Democratic Republic of Congo, zonna ziri mu kibinja A.

Mu mbeera eyo, Pulezidenti Museveni agambye nti Uganda Cranes yayolesa omutindo omulungi mu kampeyini y’okuyitamu okugenda mu mpaka za Afcon era alina esuubi, bagenda kusambira ddala bulungi.