Omuyimbi Eddy Kenzo alaze nti omuntu yenna nga mulamu, talina kwevuma nsi kuba Omutonzi akyusa obulamu mu mbeera yonna.
Kenzo musajja teyasoma kyokka asobodde okweyambisa ekitone ky’okuyimba, ekimufudde omuntu ow’enjawulo.
Mu Uganda, y’omu ku bayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba emyaka 10 egyakayita era mu East Africa ye muyimbi yekka alina award ya BET.
Mu kiseera kino, Kenzo ayolekedde Mecca okutuukiriza emu ku mpagi y’obuyisiraamu era asemberedde okufuna erinnya lya Hajji.
https://www.instagram.com/p/By5RRQ1g7Ty/