Kyaddaki Peng Peng ayogedde amazima lwaki yakoze buli kimu ku Maama Fiina bwe yabadde mu ggwanga erya Sweden sabiti eno.
Ku lunnaku Olwokusatu, waliwo akatambi akaafulumye nga maama Fiina, Peng Peng n’abantu abalala baliko ekisenge kye balimu basala dansi.
Ekyasinze okwewunyisa abantu, Peng Peng obwedda azina ne maama Fiina nga tali mu ssaati era abamu kwekugamba nti Peng Peng yakubye maama Fiina amatooke
Wabula Maama Fiina yagambye nti Peng Peng mwana muto ate mukwano gwe nnyo ate tekirimu sitaani okuzina naye.
Peng Peng agamba nti Maama Fiina yabadde atumiddwa omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni n’obuwanana bw’ensimbi okubagula, 2021 basobole okumuwagira.
Mungeri y’emu agambye nti ye mukugu nnyo mu kuyambula ebitiibwa by’abantu era yakoze buli kimu okusuula ekya Maama Fiina ku lunnaku lumu.
Peng Peng agamba nti Pulezidenti Museveni alina okunoonya omuntu omulala okumutunda mu bantu ebweru w’eggwanga kuba Maama Fiina takyasobola.