Omuyimbi omugundivu mu ggwanga erya Ghana Samuel Opoku amanyikiddwa nga Brother Sammy akwattiddwa ku misango gy’okulaga nti alina eky’okunywa ekiwonya sirimu.
Brother Sammy agamba nti eky’okunywa kye, ekimanyiddwa nga ‘Spiritual Divine Holy Water’, kiwonyezza abalwadde ba sirimu abasukka 50 era buli lunnaku, afulumya eccupa eziri 50.
Wabula ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’okulya n’eddagala mu ggwanga erya Ghana ekya Food and Drugs Authority, kigamba nti eky’okunywa eky’omuyimbi Brother Sammy, tekinaba kakasibwa era kimenya amateeka okukiwa abantu.
Bw’akwattiddwa, atwaliddwa mu kkooti era akiriziddwa okweyimirirwa ng’alina okudda mu maaso g’omulamuzi sabiti ejja.
Emu ku vidiyo za Brother Sammy
https://www.youtube.com/watch?v=lOlgD_67_0g